Hosea 13

Mukama Asunguwalira Isirayiri

1 aEfulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga.
Yagulumizibwanga mu Isirayiri.
Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.
2 bNe kaakano bongera okwonoona;
ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe,
ng’okutegeera kwabwe bwe kuli,
nga byonna mulimu gw’abaweesi.
Kigambibwa nti,
“Bawaayo ssaddaaka ez’abantu,
ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”
3 cKyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya,
oba ng’omusulo oguvaawo amangu,
ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro,
oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.

4 d“Nze Mukama Katonda wo
eyakuggya mu nsi ya Misiri;
so tolimanya Katonda mulala wabula nze,
so tewali mulokozi wabula nze.
5Nakulabirira mu ddungu,
mu nsi ey’ekyeya ekingi.
6 eBwe nabaliisa, bakkuta;
bwe bakkuta ne beegulumiza,
bwe batyo ne banneerabira.
7Kyendiva mbalumba ng’empologoma,
era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
8 fNg’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo,
ndibalumba ne mbataagulataagula.
Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo,
ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
9 gNdibazikiriza mmwe Isirayiri,
kubanga munnwanyisa.
10 hKabaka wammwe ali wa, abalokole?
Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa,
be wayogerako nti,
‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
11 iNabawa kabaka nga nsunguwadde,
ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12 jOmusango gwa Efulayimu guterekeddwa,
era n’ekibi kye kimanyiddwa.
13 kObubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira,
naye omwana olw’obutaba n’amagezi,
ekiseera bwe kituuka,
tavaayo mu lubuto.

14 l“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,
era ndibalokola mu kufa.
Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?
Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?

“Sirimusaasira,
15 mne bw’anaakulaakulana mu baganda be.
Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama,
ng’eva mu ddungu,
n’ensulo ze ne zikalira,
n’oluzzi lwe ne lukalira.
Eggwanika lye lirinyagibwa,
eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
16 nAbantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”
Copyright information for LugEEEE